Genesis 38:27-30

27 aEkiseera eky’okuwona bwe kyatuuka n’alabika nga wakuzaala balongo. 28Era bwe yali mu ssanya omulongo omu n’afulumya omukono gwe, omuzaalisa n’agukwata n’agusibako akawuzi akaakakobe nga bw’agamba nti, “Ono y’asoose okujja.” 29 bNaye omulongo bwe yazzaayo omukono gwe munda, muganda we n’afuluma; omuzaalisa n’agamba nti, “Lwaki owaguzza?” Erinnya ly’omwana kyeryava liba Pereezi.
Pereezi yali jjajja wa Dawudi
30 dOluvannyuma muganda we n’afuluma n’akawuzi akaakakobe nga kali ku mukono gwe, n’ayitibwa Zeera.

Copyright information for LugEEEE